Bya Lubega Mudashiru
Abakinjaaji mu kibuga Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo basazeewo okulinnyisa ebbeeyi y’ennyama, nga bagamba nti kuvudde ku bbeeyi y’amafuta okuba waggulu n’eby’amaguzi ebirala.
Mu buli kilo y’ennyama bongeddemu shs 3000/=.
Kati kilo ebadde ku shs 13,000/-, egenda kutundibwa shs 16,000/-.
Ebbeeyi y’ennyama werinnyidde ng’abayisiraamu betegekera okukuza iddi Alfitir, esigaddeko ennaku bunaku etuuke.
Abakinjaaji bagamba nti wadde ng’abalunzi tebanayongeza bbeeyi yq bisolo byabwe, abasuubuzi bakozesa sente nnyingi okutambuza ensolo okuva mu bitundu ebyenjawulo olw’ebbeyi y’amafuta eri waggulu.
Bino bijidde mu kiseera nga president Museveni yakasisinkana ababaka ba parliament ab’akabondo ka NRM, okusala amagezi kungeri gyebamalawo ekizibu ky’ebbeyi y’ebintu, wabula tewanabaawo kikolebwa.
Sssentebe w’abakinjaaji ki Kampala Butcher Traders’ Association Hajji Musa Ssenabulya agambye nti ebbeeyi eyo baagisazeewo nga bamaze okwekennenya, wabula naasaba bakinjaaji banne obutapaaluusa bbeeyi okuva kweyo gyebaasazeewo .
Buli kilo y’ennyama bajongeddemu shs 3000, kati yakutundibwa shs 16,000/-.