Omulangira David Kintu Wassajja awadde abavubuka amagezi okukozesa ebitone byabwe okwekulakulanya.
Abadde nsisinkano yaAbakamanyi fest ku Front Page Hotel e Namasuba, Omulangirira David Lumansi omukozi ku CBS FM bw’abadde asisinkanye abawagizi b’omupiira era abanyumirwa ennambika ye mu nsonga z’omupiira.
Lumansi ayogedde ku nsonga z’omupiira n’emizannyo egitali gimu nga kwotadde nookuddamu ebibuuzo by’abawuliriza ku by’emizannyo.

Omulangira David Lumansi awabudde abantu bonna abakwatibwako ebyemizannyo buli omu okulima olubimbi lwe, omuli government okuzimba ebisaawe, FUFA, abazannyi, abatendesi,abawagizi bagende mu bisaawe bawagire ate babeere n’empisa n’ebirala.
David Lumansi aweereza programme z’ebyemizannyo eyitibwa Abakamanyi ku CBS FM 88.8, buli lunaku monday – Friday, okuva essaawa 11 okutuuka 12 ez’akawungeezi.#