Olukiiko olufuzi olulondoola ensonga zábakadde mu Uganda olwa National Council for Older persons in Uganda luwadde government amagezi enyweeze amateeka agakuuma abakadde, bakome okunyigirizibwa songa baliko byebayambako mu nkulaakulana yéggwanga.
Abakadde baagala ensimbi government zeebawa zongerweko okuva ku mitwalo 25000 zebawa buli mwezi, zifuuke emitwalo 100,000.
Bagala era némyaka egitandikibwako okuwebwa ensimbi gikeko, okuva ku myaka 80 egyóbukulu gitandikire ku myaka 60.
Bwabadde awayaamu ne bannamawulire ku Katikati Hotel mu Kampala Ssentebe wólukiiko olutembeeta ensonga z’abakadde John Orach abadde ku katikati hotel mu Kampala agambye nti abakadde tebayambiddwa kimala mu buweereza obwenjawulo omuli obujjanjabi, ensimbi zókwekulakulanya nébirala.
Patrick Menya omukungu mu ministry yékikula kyábantu ategeezezza nti newankubadde waliwo ekikolebwa okuzza essuubi mu bakadde, waliwo bangi abatafuna nsimbi olwensobi ezaakolebwa nga bewandiisa okufuna endaga muntu.
Lydia Kiwummulo Kawuma omukugu mu mbeera zábakadde asabye bannansi naddala abavubuka okukomya okusuulira abakadde abaana babwe.
Kiwummulo agambye nti abakadde abasing obungi ekisiga okubatawaanya be bazzukulu bebabalekera okulabirira, kyokka bazadde babwe nebatafaayo kubawa buyambi bwonna.
Emilly Kemigisha okuva mu kitongole ki Helpage Uganda agambye nti nga bayambibwaako government ne bannamukago abalala omuli Grandmothers consortium ekigatta bajjajja abakyala , bakulwaana okulaba nga eddembe lyábakadde litumbulwa, nebasaba emikutu gyámawulire okubakwasizaako okuggusanga ensonga zabwe ziwulirwe.