Omulabirizi eyawummula mu bulabirizi bwe Taita-Taveta mu Kenya, Rt Rev Dr Samson Mwaluda, alabudde abakulembeze ku mitendera gyonna ne mu kkanisa ya Uganda okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebyongedde okulemesa enkulakulana mu Uganda.
Omulabirizi Mwaluda nga yabadde omubuulizi ow’enjawulo mu kusaba ku kijjukizo ky’abajulizi mu bakulisitaayo e Namugongo.
Agambye nti ebikolwa eby’obulyi bw’enguzi, okusala emisango nga gyekubidde, okukabasanya abaana, obutabanguko mu maka nebirala bizza eggwanga emabega, nga bisaanidde okulwanyisa n’amaanyi naddala ng’olutalo luno lukulemberwamu bannadiini.

Emeritus Bishop Mwaluda ebigambo bye bibadde bivvunulwa Omulabirizi wa West Buganda, Bishop Henry Katumba Tamale.
Agambye nti abajulizi ezimu ku nnono zebaatambulirako, kwekulwanyisa enkola eyokunyigirizibwa okuva kwekyo kyebaali basazeewo okugenderako, nga n’ekkanisa yebiseera bino erina okukiyigirako.
Ku lulwe Omulabirizi wa West Buganda, Rt Rev Henry Katumba Tamale, awanjagidde omutonzi okutaasa Uganda olw’ebbeeyi y’ebintu eyeyongedde okwekanama, n’okuviirako abalamazi abamu okulemererwa okutuuka e Namugongo.
Obubaka bwa president Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni,busomeddwa omumyuka we, Jesca Alupo agambye nti waliwo bannadiini abakozesa ebifo byabwe okuvumaganya pulojekiti za government n’abasaba beddeko.
Abasabye bakwasize wamu okutumbula enkola ya parish development model, n’enkola eye myooga, okulwanyisa obwavu mu Uganda.
Omumyuka wa speaker wa parliament eye 11, Thomas Tayebwa, asinzidde mu kusinza kuno naawayo obukadde 50 okudduukirira ekkanisa, era neyeyama nti wakukulemberamu parliament okuwagira emirimu gye kanisa naddala ku bbanja lya Church House.

Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, agambye nti abalamazi basaanidde okwongera obujjumbize mu kuleeta abaana e Namugongo, n’ekubakulembeza mu byekkanisa kuba gyemisingi ekigenda okuddawo mu buweereza.
Omulabirizi wa Ankole era ssentebe w’olukiiko olwakulembeddemu enteekateeka, Rt Rev Dr Fred Sheldon Mwesigwa, agambye nti omuwendo gw’abalamazi mu bakulisitaayo gweyongeddeko obungi.
Abalamazi abasobye mu mitwalo 2 bebeetabye mu kusaba kuno mu bakulisitaayo, okwategekeddwa obulabirizi bwa greater Ankole.
Omulamazi asinze obukulu omwaka guno abadde wa myaka 81 sso nga omulamazi okuva e Gulu mu bulabirizi bwa West Lango, Lawrence Okello, asiimiddwa okuba omulamazi eyasooka okutuuka ku kiggwa e Namugongo omwaka guno.
Ssentebe w’olukiiko oluteeseteese okulamaga kw’omwaka guno, Prof Ephraim Kamuntu, agambye nti kibawadde omukisa okutegeka Namugongo oluvanyuma lw’emyaka ebiri nga tewali kulamaga olw’ekirwadde kya Covid 19.
Asuubizza nti bakukwasizaako ekkanisa nobulabirizi bwe Namirembe okumaliriza enkulakulana ekolebwa ku kifo kye Namugongo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis