President Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa aliko abaserikale mu ggye ly’eggwanga erya UPDF basuumusizza amadaala, olwobuweereza bwebakoze eri ensi yabwe.
Abaserikale abasuumusiddwa bali 76.
Amyuka akulira ekitongole ekikessi ki Chiftance of Military Intellegence abadde Col.Abdul Rugumayo alinyisiddwa eddaala okutuuka kati Brig Gen.
Kuliko 62 babadde ba captain basuumusiddwa okudda ku ddaala lya Major.
Ababadde ba lutenant bali 13 kati bafuuse ba Captain.
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig Gen Felix Kulayigye abayozayozezza okutuuka ku kkula eryo.