Abakukusa ebiragalalagala n’ababiguza abaana b’amassomero baakusibwa mayisa mu nkomyo, okusinziira ku bibonerezo ebiteereddwa mu bbago ly’etteeka eryanjuddwa mu parliament okulwanyisa ebiragalalagala erya Narcotics drugs and psychotropic substance control bill.
Etteeka lino wiiki 2 eziyise ,kkooti yalisazaamu bweyakizuula nti parliament bweyali eriyisa mu mwaka 2016, teyalina muwendo gwassalira ogw’ababaka
Ababaka 2 Asuman Basaalirwa owa Bugiri municipality ne Christopher Komakech owa Aruu bebaabadde bawomye omutwe mu kuddamu okwanjula etteeka lino.
Christopher Komakech agambye nti abaana bangi boononese olw’ebiragalalagala.
Wabula ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka ategezezza sipiika wa parliament nti government eddizibwe obuvunaanyizibwa obuddamu okwekennenya n’okubaga etteeka eryo, oluvannyuma eryanjule mu parliament.
Sipiika Anitah Annet Among yakkiriza era n’abalagira obutasukka Thursday ya wiiki eno, okuba nga government ezzeemu okwanjula etteeka lino erikwata kukulwanyisa ebiragalalagala.#