Police e Mbale ekutte abavubuka babiri abagambibwa okuba nti babadde bawa omuyizi w’essomero obutwa.
Okusinziira ku police abakwate kuliko Were Abdu ow’emyaka 22 ne Tony Magidu ow’emyaka 20.
Rogers Taitika omwogezi wa police mu bitundu bya Elgon ewali Mbale, ategezezza nti abakwate babadde bagezaako okuwa omuyizi Musa Hirya asoma ekyokusatu ku ssomero lya North Road Primary School erisangibwa mu Kibuga Mbale emmere erimu obutwa, gyebabadde bamugulidde mu biseera by’ekyemisana.
Taitika agamba nti omwana Musa Hirya ategezezza nti yasoose kulaba Were Abudu ng’alina ebintu byayiwa mu mmere gyebabadde bamuwa alye, era bwebagimuwadde kwe kubaloopa mu baddukanya essomero, abayise police mangu n’ebakwata.
Emmere egambibwa okussibwamu obutwa police egitutte eyongere okwekebejebwa.
Taitika agambye nti Were Abdu muganda w’omwana gwebabadde bawa obutwa, kitabwe yoomu baawula ba maama.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico