A bagambibwa okubeera abayeekera ba ADF balumbye ekyali Nyabitusi mu gombolola ye Kyabandara mu district ye Kamwenge, batirimbudde abantu 3.
RDC we Kamwenge Isaiah Kyamahane agambye nti abattiddwa kuliko omukadde owemyaka 70 ne bazzukulu be 2, olumaze okubatta ennyumba nebagiteekera omuliro, embuzi 10 n’ente 5 zebasanze ewaka bakuuliise nazo.
Kigambibwa nti abayeekera bano bebamu baalumba ekitundu kino gyebuvuddeko ne batirimbula abantu 10, nebabba n’emmere.
Gyebuvuddeko era abatuuze e Kamwenge ababadde batandise okudduka mu maka gabwe okwetegula ekibabu, ebitongole byokwerinda nga bikozesa radio n’ebizindaalo bibadde bitandise okubayita bakomewo mu maka gabwe nga babasuubiza nti ebyokwerinda binywezeddwa.#