Okwokya Amanda entakera,abatema emiti okufumba obuloddo,wamu n’abasalamala abasala emiti okufuna embaawo nebirala byebimu kubinokoddwayo ng’ebisinze okuleeta ekyeya mu Ggombolola ye Ssekanyonyi mu Mityana District.
Omwami wa Ssabasajja Kabaka owe Ggombolola ya Ssabagabo Ssekanyonyi Ssinabulya Baanabassa bw’abadde akwasibwa ettaka okusimbako ekibira yiika 100, nga zibaweereddwa abasaserodooti abegattira mu Kibiina ki Capuchin Fransican ekyatandikibwabwo Paapa Franciscan.
Abatuuze nabo balumirizza abafumba walagi nokukola obuloddo nti kati enku baziwenja buseenene era buli muti gwebagwako gegulutonda kyokka tebafuddeyo kusimba miti mirala.
Proscovia Nanyonjo Vickman alwanirira obutonde yebazizza abawaddeyo ettaka lino naye nalaga okwenyamira alwabantu abasanyawo obutonde bwensi awatali kulumirirwa ggwanga lyabwe.
Bisakiddwa: Membe John