Abaddukanya emikutu gy’amawulire mu Uganda baagala gavumenti ebakendeereze ku nsimbi za license n’emisoso emirala egiteekebwa ku mikutu gy’amawulire.
Bano mu kibiina kyabwe ekya National Association of Broadcasters baabadde mu ttabamiruka waabwe ow’omwaka guno ku Hotel Africana mu Kampala nebagamba nti ensimbi ezibasabibwa UCC okufuna license nnyingi nnyo eziremese emikutu egimu okukola emirimu.
Ttabamiruka ono yeetabyemu ne minista w’amawulire mu gavumenti y’awakati Dr Chris Baryomunsi era mu kwanukula yasuubizza nti ensonga yaabwe bagenda kugitunulamu.
Bammemba mu ngeri yeemu baakyusizza obukulembeze newankubadde bangi ku baabaddeko bazzeeko.
Ku kifo kya ssentebe, ssenkulu wa NBS Kin Kariisa yakitutte ekisanja eky’okusatu, ng’amyukibwa Innocent Nahabwe owa Galaxy FM naye ataavuganyiziddwa.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe y’akiikirira bannannyini mikutu egisangibwa mu Buganda.
Mu ttabamiruka ono era minister Baryomunsi yasabye bannyini mikutu okyamba bannamawulire baabwe okwewandiisa ne Media Council of Uganda kisobozese gavumenti okubateekerateekera n’okumanya omuwendo gwa bannamawulire omutuufuu abali mu ggwanga.