
Police mu kibuga Jinja ekutte omuvubuka Okello Fred, agambibwa okuba ngábadde yeyita munnamagye nátiisatiisa abantu.
Okello Fred atemera mu gyóbukulu 34 akwatiddwa mu kitundu ky’e Walukuba e Masese mu Jinja City.
Omwogezi wa police e Jinja James Mubi agambye nti abatuuze bebabagulizza ku police, nti Okello abadde yeyita munnamagye ali ku ddaala lya Brigadier General, wabula nga bwagenda avuma abantu nókubatiisatiisa.
James mubi agambye nti Okello Fred asangiddwa nébyambalo byámagye, engatto zámagye nékiso.
Ekiseera kino akuumibwa ku CPS e Jinja, gyágenda okuggibwa atwalibwe mu kooti yámagye e Makindye mu Kampala yewozeeko, nga bweboongera okunoonyereza ne ku balala babadde akolagana nabo.
Bisakiddwa; Okello Fred