Abakulembeze mu kitundu ky’e Acholi batonzeewo ensawo eyenjawulo, omugenda okussibwa ensimbi ezokuweerera abaana bonna,abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah babadde aweerera ku mitendera gyonna.
Ensawo eno etuumiddwa Oulanyah Education Trust Fund.
Kitegerekese nti Jacob Oulanyah abadde aweerera abaana okuva mu kitundu kye Acholi naddala district ye eye Omoro abasoba mu 100.
Abayizi bano abamu kubbo boogeddeko eri abakungubazi mu maka g’omugenzi e Muyenga, ewabadde okusabira omwoyo gwe.
Ssaabalamuzi w’eggwanga Alphonse Owinyi Dollo agambye nti baasazeewo okutondawo ensawo eno, okutuukiriza ebiruubirirwa by’omugenzi Jacob Oulanyah.
Ssabalamuzi Owinyi Dollo nga ssentebbe w’olukiiko olufuga ensawo eno,agambye nti wakukola buli ekisoboka,ensimbi eziteekebwa mu nsawo eno obutabulankanyizibwa wabula zituukirize ebigendererwa ebyagitonzezaawo
Sipiika wa parliament Anita Among naye abadde mu maka g’omugenzi e Muyenga mu kusaba okutegekeddwayo, naalangirira nti ababaka ba parliament bakusalibwako omutemwa gw’ensimbi, zissibwe mu nsawo eno okulabirira abaana b’omugenzi n’okuweerera abaana baabadde akwasizaako.
Ssabaminisita w’eggwanga Robinah Nabbanja Musaafiiri agambye nti omugenzi abadde akola butaweera okubbulula abantu b’ekitundu kyobukiika kkono mu bwavu,n’agamba nti enteekateeka ezo zirina okusigala nga zigenda mu maaso,nti kuba zibadde ziyamba abantu bangi.
Minister owaguno naguli mu offiisi ya ssabaminisita Justine Kasule Lumumba eyettise obubaka bwa government mu kusaba kuno ,agambye nti government ya NRM efiiriddwa nnyo omuntu abadde atakabanira emirembe ,era bwatyo asabye bannansi buli alina ekirungi kyamanyi ku Jacob Oulanyah okukiwandiika akiteeke ku mitimbagano ,abaliddawo balibisomako nebafuna ebyokuyiga mu buli kusoomooza okujja.
Minister omubeezi ow’ebyobulimi n’obulunzi Bright Rwamirama Kanyantore nga yeyassemba erinnya lya Jacob Oulanyah bweyali alondebwa ku bwa sipiika ,agambye nti Oulanyah musajja abadde akola buli kyakola n’obukugu saako obumanyirivu ng’eggwanga ligenda kumusubwa nnyo.
Rt.Rev. Dr. Joel Obetia omulabirizi eyawumula owobulabirizi bwa West Nile ,akuliddemu okubuulira mu kusabira omwoyo gwomugenzi, asabye abantu katonda bakyawadde obulamu,okukola ebirungi n’okubeera abali mu bwetaavu, nga sipiika Jacob Oulanyah bwayogeddwako.