Ekerezia Katolika ekungubagide omugenzi, Joseph Sseruwooza, abadde omuwereeza ku BBS Terefayina, era neesasiira nnyo abenju ye.

Rev Father Marvin Lukyamuzi, bwabadde akulembeddemu ekitambiro kya Misa okusabira omwoyo gw`Omugenzi Joseph Sseruwooza mu Lutikko e Lubaga, yebaziiza omukama olw’emirimu emirungi gyamukozesezza ku myaka emito, era naagumya abenju nti omuntu waabwe agenze mukifo ekituvu mukama watusiiza abeesiimi.
Father Marvin Lukyamuzi era asinzidde wano nawanjagira banna byabufuzi naddala ababaka ba parliament okukola obuvunanyizibwa obubasuubirwamu era obwabalondesa, baleme kukolerera mbuto zabwe zokka.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament, Joel Ssenyonyi, atendereeza obuwereeza bw`Omugenzi, era nasaba abasigaddewo mu Mawuliire okumulabirako.
Avunanyizibwa ku nzirukanya yeemirimu ku BBS Terefayina, Steven Danstan Busuulwa, ategezeeza nti bafiriddwa omukozi abadde ow’embala ng’akola n’amaanyi, nga muyiiya, munoonyereza, mwesigwa ate nga mukkakkamu.
Namwandu Doreen Ninsiima, yebaziizza abantu bonna abababeredewo mu kiseera kino ekijjudde okusomozebwa, era nategezeeza nti omugenzi afudde balina abaana 2 nga bawala.
Joseph Sseruwooza abadde asakiira BBS Terefayina amawuliire ku Parliament, yabadde akubiriiza Program Zukuuka n’ensonga ku BBS Terefayina buli ku makya yafiriidde ku myaka 36, agenda kuziikiibwa olunaku lw’enkya e Bwenzitiire Lwamaggwa mu ssaza Kooki mu Rakai district.
Bisakiddwa: Musisi John











