Abatuuze ku kyalo Kasambya mu town council ye Kyotera babunye emiwabo akawungeezi, omuvubuka abadde ayokya ebyuma bwakubiddwa ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu nekimumenya amagulu, nekireka abalala babiri nga bapooca n’ebisago eby’amaanyi.
Akubiddwa ekyuma ekiringa bbomu nga kino kibwaatuse nnyo amanyiddaako lya Bukenya lyokka.
Kigambibwa nti waliwo omuvubuka aleetedde Bukenya ebyuma bya scrap abigule nga buligyo bwakola, kyokka olukutte ekimu ku byuma ekibadde ekizito ebitagambika, afunye ekyuuma ekisala ebyuuma kiyite Whelding Machine natandika okukibajjula.
Wayise akaseera katono ddala balabye Bukenya ekintu kimukasusse mu bbanga nekimubuusa ekkusa nekimukasuka eyo, bagenze okumutuukako ng’akutuseeko amagulu.
Bamuddusizza mu ddwaliro eririranyeewo ne banne ababiri abakubiddwa obupapajjo bw’ekyuma ekibwatuse.
Waliwo abavubuka abazudde ebimu ku bipapajjo by’Ekyuma ekibwatuse.
Bagamba nti ekyuma ekibwatuse kibadde kyakulanga Flask emanyiddwa nga eya kikopo kimu.
Poliisi kitegeerekese nti etuuse mu kitundu awagudde enjega eno, nebaako obujulizi bwegyawo okutandikirako okunoonyereza kwayo.
Bisakiddwa: Kato Denis