Abantu 2 maama n’omwanawe bafiiriddewo n’abalala babiri nebatuusibwako ebisago, Loole ebadde etisse ensawo za kasooli eremeledde omugoba waayo nedda emabega nebatomera.
Aberabiddeko nagaabwe bagamba nti Loole Isuzu Elif eremeredde deleva nagibuukamu nedda emabega nerinnya ababadde bagivaako emabega nga batambula.
Police emirambo egiggyewo negitwala mu ggwanika e Jinja nga bweyigga omugoba wa Loole.
Bisakiddwa: Kirabira Fred