Abatuuze ku kyalo Kawaala mu town council ye Maddu mu district ye Gomba baguddemu ekikangabwa, oluvanyuma lw’omuvubuka okugwa mu ddaamu y’amazzi n’afiirawo
Abamu ku batuuze bategezeza nti agudde mu ddamu ye Sadiq Ssekasamba myaka 25.
Abadde mutuuze ku kyalo Kawaala era ng’abadde alina ffaamu y’ente kw’abadde akola.
Aberabiddeko ng’agwa mu ddamu bagamba nti abategezezza nga bw’abadde awulira ebbugumu era n’asalawo okugwa mu mazzi nga bulijjo bwebatera okukola, wabula ku mulundi guno oluyingidde mu mazzi negamumira era tazze ngulu.
Omulambo tegunalabika.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico