Abasirikale ba police 94 bongedde okubangulwa mu technology akwata ku mafuta, oil n’ebirala ebikozesebwa mu mmotoka n’ebidduka ebirala, okwanganga abantu abeyongedde okubicupula n’okutabikamu ebiragalalagala ebirala.
Enteekateeka eno ey’okubangula abasirikale ekulembeddwamu kampuni ya total energies, mu musomo ogumaze ennaku 2 nga gubumbujjira ku Tulip hotel mu Kampala.
Frank Kugonza Ag Deputy Director Fleet management, agambye nti bongedde okufuna okwemulugunya okuva bantu, olw’ebicupuli by’ebintu ebikozesebwa mu mmotoka naddala oil n’ebirala eby’onoona emmotoka zabwe n’okwonoona obutonde bwensi.
Asabye abasirikale abatendekeddwa okukozesa obukugu obubaweereddwa okulwanyisa abamenyi b’amateeka abo.#