Waliwo ekibinja ky’abanoonyi b’obubudamu ekiyingidde Uganda nga kiva mu nsi ey’okumuliraano eya Democratic Republic of Congo awaabaluse okulwanagana okw’amanyi.
Tukitegeddeko nti mu kulwanagana kuno waliwo n’enkambi y’abebyokwerinda ewambiddwa bamukwata mmundu.
Okulwanagana kuno kutandikidde mu bitundu by’e Chanzu ne Runyonyi okumpi ne Virunga ekiwalirizza bannansi okwamuka eggwanga nebeesogga Uganda nga ne nnabugi simufungize. Abanoonyi b’obubudamu bakuumirwa mu nkambi e Bunagana.