• Latest
  • Trending
  • All
Ababundabunda beyongedde ku nsalo e Bunagana-abaana abamu basigadde tebaliiko ayamba

Ababundabunda beyongedde ku nsalo e Bunagana-abaana abamu basigadde tebaliiko ayamba

April 1, 2022

Muwanga Kivumbi eyali omubaka wa Butambala ayiimbuddwa ku kakalu ka kooti – awerennemba na misango gya Butujju

July 9, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

July 8, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

KCCA FC ekaansizza omuwuwuttanyi Yunus Sibira – okuva mu Kitara FC

July 8, 2026
Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

July 8, 2026
President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

July 8, 2026
Obukadde bwa shs 139 bwebuleeteddwa mu nkola ya Luwalo lwange – lwerusoose mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027

Obukadde bwa shs 139 bwebuleeteddwa mu nkola ya Luwalo lwange – lwerusoose mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027

July 7, 2026
Essiga eddamuzi lyagala bannamateeka bakulemberemu kaweefube w’okugonjoola emisango gy’amaka nga bayita mu kutabagana – mu kifo ky’okujitwala mu kooti

Essiga eddamuzi lyagala bannamateeka bakulemberemu kaweefube w’okugonjoola emisango gy’amaka nga bayita mu kutabagana – mu kifo ky’okujitwala mu kooti

July 7, 2026
Okutongoza Kaliisoliiso Dinner Concert ku Nkozi Hospital – 09 July,2026

Okutongoza Kaliisoliiso Dinner Concert ku Nkozi Hospital – 09 July,2026

July 7, 2026
Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 33 ku Watoto Church e Bweyogerere – 31 July,2026

Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 33 ku Watoto Church e Bweyogerere – 31 July,2026

July 7, 2026
Auto Draft

Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira y’omwaka 2026 – ya buwumbi 409

July 6, 2026
Ababaka ba NRM balonze Stella Kiryowa ne Fred Bangumya – okujjuza ebifo bya Uganda mu EALA

Ababaka ba NRM balonze Stella Kiryowa ne Fred Bangumya – okujjuza ebifo bya Uganda mu EALA

July 5, 2026
Buddu erumbye Buweekula e Mubende negikubirayo – mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026

Buddu erumbye Buweekula e Mubende negikubirayo – mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026

July 5, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

Ababundabunda beyongedde ku nsalo e Bunagana-abaana abamu basigadde tebaliiko ayamba

by Namubiru Juliet
April 1, 2022
in Features, News
0 0
0
Ababundabunda beyongedde ku nsalo e Bunagana-abaana abamu basigadde tebaliiko ayamba
0
SHARES
167
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Abamu ku baana abagambibwa omuba nga bazadde babwe battiddwa mu lutalo lw’abayeekera ba M23 n’amagye ga FARDC. (Omuto atwaliddwa mu ddwaliro lya Gitowa e Bunagana ng’embeera ssinnungi.)

Bya Kato Denis

Abayeekera ba M23 bongedde okusiisira mu bitundu ebiriraanye ensalo ye Bunagana ku ludda lwa DRC, ebikumi n’ebikumi by’ababundabunda byongedde okwesogga Uganda.

Waliwo abamu ababadde basazeewo okuddayo okwaboobwe,bakomyewo misinde.

Kigambibwa nti waliwo abantu ba bulijjo abattiddwa mu kulwanagana wakati w’amagye ga DRC aga FARDC n’abayeekera ba M23, wabula omuwendo gw’attiddwa tegunamanyika.

Waliwo abaana abasangiddwa nga basigadde ttayo,kigambibwa okuba nga bazadde babwe bebamu ku battiddwa mu kulwanagana kuno.

Omu ku baana bano embeera gyalimu eyungula ezziga,era omu ku bbo atwaliddwa mu ddwaliro lye Gitowa mu Bunagana town council okufuna obujanjabi.

Meeya wa Bunagana municipality Ismail Ndayambaje ategeezezza nti tebagenda kuddamu kukkiriza munoonyi wabubudamu yenna kusala nsalo kudda Congo, okugyako nga gavumenti yaayo eyisizza obubaka obukakasa nti ebyokwerinda binyweevu, olwo ababundabunda abaagala okudda okwa boobwe bakkirizibwe baddeyo.

Ebyobusuubuzi tebinnaddamu kutereera nga bwegubeera bulijjo, ababundabunda bakwatiridde ku mbalaza z’amaduuka, n’abasuubuzi mu kitundu ekyo nabo batya okufiirizibwa emmaali yaabwe.

Ku ssomero lya Bunagana primary school ewasinze okugumba ababundabunda abangi, abayizi tebanaddamu kusoma okuva ku ntandikwa ya wiiki eno abayeekera lwebaalumba.

Ababundabunda bano basuubirwa okutwalibwa mu nkambi ye Nyakabande,singa embeera egaana okutereera.

Omuwendo gw’ababundabunda ogweyongera buli kadde gutaddewo okutya nti ebirwadde ebikambwe omuli Chorella n’endwadde endala eziva ku buligo zandyeyongera,olw’embeera gyebalimu

Okuva mu 1998 abayeekera ba M23 bazze batanula ennumba ezenjawulo mu DRC,abantu ba bulijjo bikumi na bikumi nebasigala nga babundabunda, nga kwotadde n’ebibinja by’abayeekera ebirala ebyekweka mu bibira bwaguuga n’ensozi ebiri mu ggwanga eryo.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Muwanga Kivumbi eyali omubaka wa Butambala ayiimbuddwa ku kakalu ka kooti – awerennemba na misango gya Butujju
  • Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government
  • KCCA FC ekaansizza omuwuwuttanyi Yunus Sibira – okuva mu Kitara FC
  • Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu
  • President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist