Ekitongole ekirwanyisa obuzzi bw’emisango obw’okweyambisa emmundu ekyatuumibwa Flying Squad kiziddwawo mu poliisi.
Flying Squad eduumirwa Andrew Kaggwa era aweereddwa abasirikale 120 abatendekeddwa okumala emyezi esatu nga kiteekeddwa wansi w’ekitingole mu poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID e Kibuli.
Olwaweebwa okuduumira poliisi ya Uganda Ssaabadumizi waayo Martin Okoth Ocholla yawererawo Flying Squad, ku byali by’ogerwa nti ekitongole ekyo ekyali kiduumirwa ACP Herbert Muhangi kyali kitulugunya abakwate ku kyali ekitebe kyakyo e Kampala Mukadde ne Nalufenya e Jinja.
Flying Squad yateekebwawo eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Edward Kale Kayihura okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala ekiwamba bantu, ettemu n’obubbi obw’ekirindi. Wabula bannansi beemulugunya ku kitongole kino nti kyali kifumbekeddemu obubbi, n’okutulugunya.
Abavaayo okuwa obujulizi ku nsonga y’okutulugunya beebo abakwatibwa ku by’okutta eyali omw’ogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesa omwali eyali Ssentebe wa Kamwenge Town Council Godfrey Byamukama, Ahmed Sseruka ne Charles Muhangi.