Abanyazi abatanamanyibwa bakuddemu era nebanyaga enziji zonna ezibadde zakawangibwa mu kizimbe ky’egombolola ya Butenga rural mu district ye Bukomansimbi.
Egombolola ye Butenga ebadde ekyabuliddwa ensimbi ezimaliriza ekitebe, kyokka ate abanyazi babbyemu enzigi zonna.
Ekitebe ky’egombolola eno kizimbiddwa ku kyalo Kanoni ku luguudo oluva e Villa Maria okudda e Bukomansimbi, oluvannyuma lw’okugikutulako Butenga Town Council.#
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak
.