Abazigu bamenye sitoowa omuterekebwa eddagala mu ddwaliro ly’e Bugiri, nebabbamu lya bukadde nabukadde bwa nsimbi.
Bbokisi z’eddagala ezisoba mu 50 zezibbiddwa.
Sentebe wolukiiko oluddukanya eddwaliro lino Mwase Yasin agambye eddagala lino libadde lyakatwalibwayo ekitongole ekya National Medical stores, ebbanga ttono eriyise
Mwase awanjagidde police n’abalala bekikwatako okukwasiza awamu okunoonyereza ku baayise abalabe ba government abagenderera okugootaanya empeereza yaayo mu bantu.
Police emaze okukwata omukuumi w’eddwaliro lino abeereko byanyonyola.
Bisakiddwa: Kirabira Fred