Ababaka Muhammed Seggirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West bayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa nsimbi 20 ez’obuliwo.
Ababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.
Omulamuzi Lawrence Tweyanze abalagidde okuwaayo passport zabwe n’okweyanjulanga mu kooti buli mwezi, era n’abalabula obutagotaanya kunoonyereza kwonna okugenda mu maaso mu musango guno.
Ababaka bano bamaze ku alimanda okuva mu mwezi gwa September, 2021, ku misango gyobutemu obwekuusa ku bijambiya ebyali e Masaka mu makati ga 2021.#