Ababaka ba parliament ku ludda oluvuganya governmrnt basazeewo okwesamba entuula za parliament zonna, okutuusa nga government ewadde alipoota erimu okwetonda ku bikolwa byebayise ebyeffujjo ebityooboola eddembe ly’abantu abali ku ludda oluvuganya, nti byezze ebakolako ng’eyita mu bitongole by’ebyokwerinda.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba abuulidde bannamawulire nti ensonga y’okutyoboola eddembe ly’abantu abavuganya government terina kusaagirwamu, nti abamu abali mu government bwebagibaalatiramu.
Kinnajjukirwa nti ng’ennaku zomwezi 5 October,2023 abebyokwerinda baakwata omukulembeze w’ekibiina ki NUP nga yakatuuka ku kisaawe e Ntebbe, okuva ku nnyonyi ya RwandaAir gyeyali ajjiddemu okuva e SouthAfrica, nebamukunguzza okutuuka mu makaage e Magere.
Mu mbeera yeemu, nga 09 October,2023 abebyokwerinda baazingako ekitebe Kya NUP e Kamwokya nebalemesa okusaba okwali kutegekeddwa ekibiina kino, okusabira abantu babwe abazze bawambibwa,abaafa naabo abali mu makomera, ne kwolwo abawagizi abalala baakwatibwa.
Bino bye bimu ababaka ba parliament kwebasinzidde okuzira entuula za parliament okutuusa nga government ewadde alipoota ku bikolwa ebyo, n’okwetondera bannauganda.#