Ababaka ba Parliament batuula bufoofoofo olw’obufere obubakolebwako, okuyita ku ssimu era bangi banyagiddwako ensimbi zabwe.
Amyuuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa yoomu ku babaka abaafeerebwako ensimbi, era ategeezezza nti yayise mu bébyokwerinda nebakwata omuvubuka abadde amunyaga ensimbi.
Bwabadde aggulawo olutuula lwa parliament ,Tayebwa agambye nti ba bakyalakimpadde abo, bakozesa ennamba z’ababaka ezaateekebwa ku mitimbagano, nebabasindiikira obubaka nga babasaba ensimbi nti balunganda lwabwe oba mikwano gyabwe abali mu bwetaavu , era ababaka bangi bagudde mu katego nebabawa ensimbi.
Tayebwa yevumye ekyateekesa ennamba z’ababaka ku mitimbagano, kyagambye nti abafere nebakyaala kimpadde bano kwebaziggya olwo nebadyeekadyeeka ababaka ensimbi.
Atadde akazito ku minister w’ebyempuliziganya n’okulungamya eggwanga olwénnamba zéssimu ezitali mpandiise ,gyeziyinza okusigala ku mayengo, songa government yalangirira nti yali ezigyeeko ku mayengo.
Agasha Bashiisha omubaka omukyala owa district ye Mitooma nga yoomu kubaaferebwa, agambye nti ye baamufera akakadde kalamba
Ono agambye nti obufere bwatuuka ne mu parliament mwennyini, waliwo abantu abafereddwa nga basuubizibwa emirimu mu parliament.
Lilian Aber omubaka omukyala owa district ye Kitgum agambye nti nabalonzi babwe bennyini basuse okubafera, nga babakubira essimu nti bafiiriddwa bwebakola okunonyereza,bakizuula luvanyuma nti baabafera.
Minister omubeezi owempuliziganya, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Godfrey Kabyanga, abuulidde parliament nti tekinologiya gyakomye okukula nábafere beeyongedde, kwekuwa ababaka amagezi babere begendereze ku bafere abo.#