Ababaka ba parliament n’abakozi baayo basazeewo okwambala essuuti enzirugavu n’obutaayi obutono obumanyiddwanga bu bow ties ,ng’akabonero akokungubagira nokujjukira eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah eyayambalanga ennyo bu bowtie.
Ababaka abakyala n’abakozi abataasobola kwambala butaayi buno ,nabo balabiddwaawo nga babukookedde ku ngoye zabwe, okuggyayo amakulu n’omulamwa gw’olunaku ogw’okukungubaga.
Jacob Oulanya mu bulamu bwe bwonna abadde mwagazi wobutaayi buno awamu nessuuti enzirugavu ,era abamu ku babaka abawangadde nayo baze bamuwaako obujjulizi nti buli lweyagendanga ebweru w’eggwanga ,yabaguliranga obutaayi buno nabubaleetera.
Kigambibwa nti obutaayi buno Jacob Oulanyah yatandika okwambala bu bowtie mu mwaka 2004,era okuva olwo abadde taddangamu kwambala bika bya taayi birala.
Omubiri gw’abadde sipiika guleetebwa leero mu parliament ababaka okumukungubagira, era gyegugenda omusizibwa okutuusa olunaku lw’enkya ku lwokusatu.
Omwogezi wakabondo ka NRM mu parliament Brandon Kintu ,agambye nti ng’ababaka ba NRM bateeseetese ababaka babwe nti mu lutuula lwa parliament olwessaawa omunaana, buli omu okubaako ekirungi kyayogera ku mugenzi.
Parliament okuviira ddala ku wankaaki waayo okutuuka mu kizimbe kyennyini ekya parliament watereddwawo ekiwempe ekimyufu n’okutimbawo ebimuli ebyalangi emyufu, kyenvu ne kiragala ng’akabonero akalaga ekitiibwa ekibadde kiweebwa omugenzi.
Oulanyah ye sipiika wa parliament asoose okumala akaseera akatono mu ntebe.
Yalondebwa nga 24 may,2022 era nga yasemba okulabwaako ng’akubiriza parliament, ababaka lwebaayisa ennongosereza mu tteeka erifuga ekittavu ky’bakozi ki NSSF, eryakkiriza abakozi okufuna ku nsimbi zaabwe ebitundu 20 ku kikumi,nebwebaba tebanaweza myaka 55 egyogerwako mu tteeka ekadde.
Mu bigambo bye ebyasembayo etteeka lino bweryaali liyisibwa,yagamba nti wakufuna ku tulo ,olwabakozi abaamuli obubi ngetteeka lino terinayisibwa.