Ababaka ba parliament abava mu kitundu kya Acholi bakalambidde, bagala government esooke efulumye alipoota ku kyasse abadde sipiika Jacob Oulanyah, eryoke ekole enteekateeka zokumuziika.
Ssabawandiisi w’akabondo ka Acholi parliamentary group munna FDC Gilbert Oualanya era omubaka wa Kilak south agambye nti ng’omwana wabwe Oulanya tanaziikibwa, government esooke ebabuulire ekitta abaana babwe abava mu bukiika kkono bw’eggwanga, ababeera baakatuuka mu bifo by’obukulembeze ebinene.
Agambye nti buli mwana wabwe asuumuukamu natuuka ku kifo ekinene ekyobukulembeze mu ggwanga, ngaafa mu ngeri etategerekeka, wabula nebatafuna alipoota nambulukufu.
Awadde ekyokulabirako ekya Lt. Gen Paul Lokech eyali omumyuka wa ssaabapoliisi w’eggwanga, Maj. Gen. Francis Oketa n’abalala.
Gilbert Oalanyah ayagala n’ekifo ekibaddemu Oulanyah nti NRM ekkirize abawe omukisa balondeyo omuntu omulala ava mu Acholi, yaaba akiddamu abanazeeko amaziga.
Bino webijidde nga president Museven yakalonda minister avunaanyizibwa ku nsonga za president Milly Babalanda, okukulemberamu akakiiko akagenda okuteekateeka okuziika abadde sipiika Jacob Oulanyah.
President Museven ayisizza n’ekiragiro nti bendera z’eggwanga zonna zewuubire mu makati g’emirongooti okutuusa Jacob Oulanya lwanaziikibwa.