Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko akalondoola eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga bakalambidde bagala omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Lubowa international specialised hospital guyimirizibwe, abaakola endagaano n’abaawaayo sente basooke banoonyerezebweko.
Okuva mu 2019 wabaddewo vvaawo mpitewo mga tewali muntu akkirizibwa kugenda kulambula ekifo awazimbibwa eddwaliro lino, era ng’olwasembayo ababaka abatuula ku kakiiko ak’ebyobulamu n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obulamu baabagobera ku lyango nebavaayo nga batolotooma.
Ba minister beby’ensimbi abakulembeddwamu matia Kasaija baategezezza nti okuzimba eddwaliro lino kwali kwazingama olw’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19.
Kati bagala liweebwe wakiri obuwumbi bwa shilling 319, zissibwe mu mbalirira y’omwaka ogujja.
Mu 2019 parliament yeemu yakkiriza government okwewolera musiga nsimbi obukadde bwa dollar ya America 300, okutandika okuzimba eddwaliro lye Lubowa, era nga lyali lisuubirwa okuggwa mu bbanga lya myaka ebiri.
Okunyonyola Kwa minister tekwamatizza babaka nebasalawo basooke bagendeyo balambule, okulaba omulimu wegutuuse.
Minister omubeezi ow’e nsimbi Henry Musaasizi aliko obujulizi bweyaleetedde ababaka obulaga nti musiga nsimbi ono government ezze emusasula ensimbi okuzimba eddwaliro lye Lubowa, era kyebagala kyekya government okutuukiriza obweyamo bwayo, balinde musiga nsimbi kutuukiriza buvunanyozibwabwe.
Ababaka batandise okwekennenya omulimu ogwakakolebwawo, balabe obuwumbi 348 ezaasooka okuwebwayo kyezaakakola.
Ababaka olwaleero era batuuseeko mu kifo ewazimbibwa eddwaliro lino, basanze abaali bazimba omulimu baagusuulawo gwakoma mu musingi.
Kaminsona w’ebyobuzimbi mu minisitule y’ebyobulamu Ying. George Otim, ategezeezza nti omulimu ogwo ogwakakolebwawo ogw’okuzimba omusingi bakagusaasaanyizaako obukadde bwa dollar za America 11.
Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija naye bwatuuse ewazimbibwa eddwaliro bimusobedde, n’atabukira abakulu mu ministry y’eby’obulamu, ng’ayagala banyonyole kwebabadde basinziira okumupeeka ssente kumpi buli lunaku nga tewali mulimu gukolebwa.
Wabaddewo era okusoberwa ababaka kwosa ne minister Kasaija bwebabuuziza kampuni entuufu ezimba eddwaliro lino, nga tewali agimanyi.
Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agamba nti ekigenda maaso bwandiba obulyanke obwetaaga okusooka okunoonyerezaako.
Ssentebe w’akakiiko kano ka parliament ak’ebyobulamu Keefa Kiwanuka agambye nti kyebazaako kwekunoonya ebiwandiiko byonna ebikwata ku ndagaano y’okuzimba eddwaliro.
Musiga nsimbi ono eyakwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okuzimba eddwaliro lino erya Lubowa International specialised hospital ayitibwa Enrica Penneti,era yoomu yaweereddwa n’endagaano endala ey’okuddukanya ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga,azimbe ekkolero erinaazisunsula zigattibweko omutindo nga tezinatundibwa bweru wa ggwanga.