Omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa ayimirizza ababaka 5 abali ku ludda oluvuganya government okumala ennaku 3 nga tebakiika mu parliament, abalanze kweyisa mu ngeri etyoboola parliament.
Abayimiriziddwa kuliko Frank Kabuye owa Kassanda South, Francis Zzaake owa Mityana municipality, Joyce Bagala omukyala owa Mityana, Betty Nambooze we Mukobo ne Derrick Nyeko wa Makindye East.
Kivudde ku babaka bano okuva mu mbeera nebatandika okuleekaanira waggulu nga bawakanya ekya Sipiika n’ababaka ba NRM okulemesa okuzannya ka video akalaga engeri ab’obuyinza gyebaakwatamu president wa NUP ku kisaawe Entebbe bweyali ava emitala w’amayanj.
Kubaddeko ne ka video akalala akalaga engeri abakulembeze ba NUP gyebaakwatibwamu ku lunaku lw’amefuga ku kitebe ky’ekibiina kyabwe, bwe baali bagenze okwetaba mu kusaba okwali kutegekeddwa ku kitebe kya NUP e Kamwokya.
Akulira oludda oluvuganya abadde asabye sipiika obutambi buno buzannyibwe era sipiika n’alagira kazannyibwe, bakanze kulinda abakozi ba parliament abakwatibwako okukazannya nga tewali kivaayo.
N’ekiddiridde gemasannyalaze okuvaako ekitabudde ababaka ba NUP nga bagamba nti kikoleddwa.mu bugenderevu.
Oluvannyuma lw’eddakiika nga 50 parliament ezeemu okutuula sipiika n’alagira
Bino byonna okubaawo minister omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga David Muhoozi lwayanjudde alipoota ab’oludda oluvuganya government bulijjo gyebabadde balinze, ekwata ku kukwatibwa kwa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ku kisaawe Entebbe wamu ne kukukwatibwa kwa bakulembeze ba NUP ku kitebbe ky’ekibiina e Kamwokya ku lunaku lw’amefuga.
Sipiika asosse kutegeeeza nga bwebakiriziganyizza n’akulira oludda oluvuganya government nti abaweereza be ab’ekikugu bagende bazannye video eyo olw’abakozi ba parliament okugaana okukazannya, wabula ate oluvanyuma ababaka ba NRM nebakigaana nga bagala Sipiika asooke ateekewo ekibuuzo basalewo oba video ezannyibwa oba tezanyibwa ekintu ababaka abali ku ludda oluvuganya government kyebawakanyizza.
Sipiika ataddewo ekibuuzo era gyebigweredde ng’abatawagira video kuzannyibwa nga bebaliidde empanga, ekyogedde okutabula ababaka b’oludda oluvuganya nebatandika okulekanira waggulu wamu n’okukuba akadde.
Gyebiggweredde nga Sipiika abagobye 5 mu parliament okumala entuula 3, era n’olutuula lwa parliament nelukoma awo.
Bisakiddwa: Ssebadduka Paul