Ababaka bannakibiina ki NRM era ekikulembera eggwanga Uganda, nga bayita mu kabondo kabwe bakaanyizza ne ssentebbe w’ekibiina kino era omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni okuwagira enteekateeka ya government ey’okugatta ebitongole ebikola emirimu egifanaagana, n’okugyawo ebimu ebitalina mulamwa gw’amaanyi eri eggwanga.
Basinzidde mu nsisinkano yabwe n’omukulembeze weggwanga etudde mu Maka g’obwa president Entebbe.
Ekiwandiiko ekivudde mu nsisinkano eno ekiteereddwako omukono namapala wa government Hamson Obua ,kinyonyodde nti ababaka bannaNRM bafunye okunyonyolwa okuva eri ssentebbe wabwe ku nteekateeka eno eyokugatta ebitongole n’okuggyawo ebimu, nebakaanya okuwagira ennongosereza mu mateeka govrrnment gegenda okwanjula eri parliament okutuukiriza enteekateeka eno.
Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga government eyanjula ennongosereza zino mu parliament ,nga kuliko nennongosereza mu ssemateeka w’eggwanga, nti kubanga ebimu ku bitongole ebigenda okugattibwa byatondebwa
awo mu ssemateeka w’eggwanga.
Government ku nkomerero y’omwaka oguwedde 2023, yayanjula mu parliament amabago g’amateeka geyali eyagala okuyitamu okuggyawo ebitongole ebitali bimu okuli ebikola emirimu egifanaagana neebyo ebitakyagasa ggwanga, kyokka nga bisaasaanyizibwako ensimbi mpitirivu, wabula parliament yagagoba.
Ebimu ku bitongole governmrnt byeyali eyagala okugatta kwaliko ekya UNRA kyeyagala okuzaayo wansi wa ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Akakiiko keggwanga akalondoola obwenkanya keyagala okugatta n’akakiiko k’eggwanga akalondoola eddembe ly’obuntu nebirala
Okusinziira ku pulaani ya government ebitongole 33 bigenda kuggatibwa songa ebitongole 63 emirimu gyabyo gigenda kuzibwa wansi wa ministry mwebigwa.
Government eyagala kusigazaawo ebitongole 61 byokka
Mu nteekateeka y’okugata ebitongole, government egamba nti yakufissa ensimbi ezisoba mu buwumbi 700, zesaasaanya mu bitongole ebikola emirimu egifanaagana
Mu mbalirira y’eggwanga eyomwaka gwebyensimbi 2024/2025 ekyali mu bubage, ministry y’ensonga z’abakozi ba government eyagala ensimbi obuwumbi 79 okuliyirira abakozi ba government abasoba mu 1000 abagenda okufiirwa emirimu singa ebitongole ebimu bigyibwawo ate ebirala nebigattibwa.#