Ababaka ba Parliament abava mu bitundu bye Acholi baziimudde ekiragiro kyómukulembeze we ggwanga ekyókwongezaayo okusengula abalaalo abaasenga mu bitundu byabwe ku bigambibwa nti beefuga ettaka ly’abantu bebaasangawo.
Abalaalo aboogerwako okusinga bali mu District okuli Gulu,Amoro, Nyoya, Padel,ne Lamwo ekireese okulwanagana mu kitundu nga balumiriza abalaalo okuliisiza ente zabwe mu nnimiro z’abalala.
President Yoweri Kaguta Museveni yalagidde okusengula abalaalo bano okwali kulina okukolebwa nga 30th September,2023 nti okugira nga kwongezebwayo okutuuka nga 20th October,2023 okutuusa ng’amaze okwekenneenya alipoota zonna ezizze zikolebwa abakungu ba government.
Ababaka ba parliament abegattira ku kabondo ka Acholi Parliamentary Group nga bakulembeddwa Sentebe wabwe era Omubaka wa Kirak North Anthony Akol, bagala President asooke alagire abakungu ba government saako abakulu mu Maggye okwamuka ettaka ly’abantu, nti kubanga bebannyini bisolo bino.
Omubaka Akol era ategezezza nti government erina okuliwa emmere yábantu eriiriddwa ensolo ezo, nti kubanga mu kaseera kano bangi bakaaba tebakyalina kyakulya.
Wabula Minister omubeezi mu Office ya ssabaminister avunanyizibwa mu nsonga za Northern Uganda Grace Freedom Kwiyucwiny agamba nti balina okuwa ekiragiro kyómukulembeze we ggwanga ekitiibwa, okwetegereza ensonga zonna nga bwebateekateka nókubala ente zonna ne bannyinizo abatuufu olwo government esalewo ekiddako.
Bisakiddwa: Ssebuliba William