Kyadaaki kooti ento e Masaka esindise ababaka ba parliament Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Sseggirinya Muhammed owa Kawempe North mu kooti enkulu, batandike okuwerenemba n’emisango.
Kuliko obutemu,okutta,okugezaako okutta,obutujju n’okuvujirira obutujju.
Kooti e Masaka yayise banna mateeka b’ababaka bano okulabikako mu kooti eno olwa leero,wadde nga wiiki ewedde kooti yeemu yali yabalagira okukomawo mu kooti nga 6 omwezi ogujja ogwa April.
Ekibaddewo ekyenjawulo mu kooti olwa leero, oludda oluwaabi lwanjudde Wilson Ssenyonga nti ye mutemu eyatumibwanga Ssewanyana ne Ssegirinya okugenda okutemula abantu e Masaka, nga babanja obuwanguzi bw’okulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Banna mateeka babaka bano nga bakulembeddwamu Shamim Malende batabukidde mu kooti mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege, nga bagala okumanya ekibadde kiremesezza agambibwa okuba omutemu ono bulijjo okuleetebwa mu kooti, era omutemu ono takkiriziddwa kubaako kigambo kyonna kyayogera.
Oludda oluwaabi lutegezezza kooti nti bulijjo agambibwa okubeera omutemu bamulina mutaano naye nga abadde abatawanya nnyo nga tebasobola kumuleeta mu kooti.
Obujulizi obubadde mu buwandiike nti baabujja mu muntu aleeteddwa nga agambibwa nti yemutemu ,bulaga nti yatematema abantu abawerako ebijambiya,nga abamu abaziika, era yenyigira ne mu bikolwa ebirala ebikambwe.
Shamim Malende Munna mateeka w’ababaka bano agambye nti kooti ya Leero ebamazeeko ebyewungula kubanga kakati omusango gw’ababaka bano bagwongedemu ebirumira.
Olunaku olwenkya nga 29 march, ababaka bano Sseggirinya Muhammad ne Allan Ssewannyana lwebaweza emyezi 6 nga bali mu nkomyo, era nga kigambibwa nti kyekibakomezaawo mu kooti amangu nga ebbanga ly’okubanonyerezaako liweddeko.