Ababaka ba parliament ab’ekibiina kya NRM batandise olusirika lwabwe olugenda okumala ennaku 10, luyindira ku bbanguliro lyébyobufuzi e Kyankwanzi.
Ekigendererwa kyakwekennenya enkola za government ezigenderera okuggya abantu mu bwavu okuli ey’emyoga ne Parish Development model.
Okusinziira ku nnampala wa government Hamson Obua basuubira n’okwogera ku nsonga endala ezinaaba zanjuddwa ba memba, wabula nga bagala bekubemu tooci ng’abakulembeze ku buvunaanyizibwa bwabwe obwokulondoola enteekateeka za government okulaba nga ziteekebwa mu nkola ate n’okwongera okuzimanyisa abantu.
omubaka wa Bukoto mid-west Isaac Ssejjoba agamba nti mu lusirika luno NRM esaanye okukuba tooci mu ngeri gyesobola okutuusa obuweereza ku bantu.
Waliwo n’ebigambibwa nti waliwo ababaka abateekateeka okwanjula ekiteesa ekikyusa engeri omukulembeze w’eggwanga gyalondebwamu era bakiwagire, abeere ng’alondebwanga babaka ba parliament sso ssi bannauganda bonna.#