Bannamateeka b’ababaka Allan Ssewanyana ne Mohammed Sseggirinya nga bakulembeddwamu lord mayor Erias Lukwago n’ababaka abalala ab’oludda oluvuganya bakonkomalidde ku kkomera e Kigo, gyebabadde bagenze okuweebwa ababaka bano ababiri.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze yakkirizza okusaba kwabwe okweyimirirwa era n’alagira bateebwe.
Abebyokwerinda abawanvu nabampi, okuli abekitongole ky’amakomera, amaggye ne police bakyebulunguludde ekkomera lino mu bungi.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze akkiriza okusaba kw’ababaka bano okweyimirirwa bawoze emisango government gyeyabaggulako nga bava bweru wa kkomera, oluvannyuma lw’okumala omwaka gumu n’ekitundu ku alimanda.
Wabula wadde kooti ekkiriza bateebwe, naye oluzziddwayo mu kkomera e Kigo tebakkiriziddwa kufuluma kkomera, ekitabudde bannamateeka babwe n’abawagizi babwe ababadde babalindiridde ebweru w’ekkomera okutuukira ddala ku ssaawa mukaaga ez’ekiro.
Munnamateeka wabwe Erias Lukwago agambye nti abakulira ekkomera ly’e Kigo bamutegeezezza nti Sseggirinya ne Ssewannyana baabavuze mu mmotoka buli omu n’atwalibwa mu bifo gyeyasabye okutwalibwa.
Kino kyongedde kutabula bannabwe ababadde babalindiridde ku kkomera okuva lwebaavudde mu kooti, okutuuka ssaawa mukaaga ez’ekiro nga tebamanyi bibakwatako.
Mu mwaka gwa 2021 ababiri bano kooti yabayimbula ku kakalu kaayo, wabula baddamu nebakwatibwa abakuuma ddembe nebabatikka ku mmotoka zezibatwala mu bifo ebitaasoboka kumanyika, n’oluvannyuma nebabazzaayo mu kkomera.
Ababaka Muhammed Seggirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West kooti ebadde ekkiriza bateebwe ku kakalu kaayo ak’obuliwo ka bukadde bwa nsimbi 20.
Ate ababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 50 buli omu ezitali za buliwo.
Omulamuzi wasaliddewo bwatyio Ssabawaabi wa government asoose kuggyyo mu kooti obujulizi bw’abantu 3 ababadde balumuririza ababaka bano, saako n’okuggyayo ebbaluwa eziwakanya okuteebwa kw’ababaka ku kakalu nazo (affidavits).
Ababaka Muhammed Sseggirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewannyana owa Makindye West babadde ku alimanda okuva mu mwezi gwa September, 2021, ku misango gyobutemu obwekuusa ku bijambiya ebyali e Masaka mu makati ga 2021 abantu abasoba mu 30 gyebattibwa.
#