Abaffudde ye Herbert Bakesigeki 22 omutuuze we Kyatuulo n’omulala ategerekeseko erinnya limu lya Charles nga ono abadde mukozi mu faamu ya Nzuneki mu gombolola ye Mijwala e Ssembabule bagudde mu ddaamu,bwebabadde bagenda okuvuba.
Okusinziira ku Ssentebe we Kyatuulo, Silvano Wakubaliho, abavubuka bano baffiridde mu Daamu ye Kyambidde, akaato kwebabadde baseeyeyeza bwekabalemeredde n’ekabasulamu.
Waliwo n’ebigambibwa nti abavubuka bano okugenda okuvuba baasoose kwesiwa magengere olwo nebesogga amazzi, ekyabaviriddeko okulemererwa nekabasuula mu mazzi.
Police eyitiddwa emirambo n’egitwala mu ddwaliro e Sembabule okwongera okwekebejebwa.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito