Abakulembeze mu bizinga e Buvuma bafunye ku ssuubi nti abantu babwe bandiriyirirwa ensimbi zabwe, oluvannyuma lw’ebbanga erisoba mu myaka 15 nga babanja government olw’ebibanja byabwe ebyatwalibwa okulimirako ebinazi.
Government ya Uganda yatwala enteekateeka y’okulima ebinazi mu bizinga e Buvuma kati emyaka gyiwera 15, era ebibanja byabwe ebyali bigenda okutwalibwa nebibalirirwa kyokka n’okutuusa kati bangi tebaliyirirwanga.
Embeera eno gyebuvuddeko yaviirako abamu ku bantu bano okugaana musiga nsimbi okusimba ebinazi mu bibanja byabwe, n’abamu nebakkira ebimu ku binazi musiga nsimbi byeyali asimbye ne babiteekera omuliro, nga bagamba nti lwandiba olukwe lwa government okutwalira ddala ebyabwe nga tebasasuddwa.
Abakungu okuva mu minisitule ezikwatibwako okuli ey’ebyobulimi , eby’entambula n’enguudo kwosa eya government ez’ebitundu basisinkanye abakulembeze b’eBuvuma, nebabagumya nti essaawa yonna bagenda kusasulwa.
Oluvanyuma lw’ensisinkano eno amyuka omubaka wa government atuula eBuvuma Mubiru Patrick agambye nti bbo ng’abakulembeze bandifuna ku buweerero nti kuba abantu babadde beweddemu essuubi ly’okugufa ku nsimbi ezo.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis