Eyaliko omukulembeze w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya FDC era omu kubatandisi baakyo Col Kizza Besigye Kifefe yerayiridde nti tagenda kusirika nga ekibiina kyabwe kisaanaawo.
Besigye asinzidde Namugongo gyebatuulizza olukungaana lw’abaatandiika FDC, okukuba tooki ku ngeri gyebayinza okuggya ekibiina kyabwe mu mikono gyebayise egy’abawambe.
Besigye agambye nti kikafuuwe okutunula obutunuzi nga ekibiina kyabwe kigenda nebatabaako kyebakola, era yelayiridde nti ekibiina kyabwe bakyetaaga baddemu bakizze ku luguudo.
Mungeri yemu Besigye alabudde banna byabufuzi abafuuse abokugulwa obugulwa mu ggwanga nebatunda emyoyo gyabwe, agambye nti bano bebazizza eggwanga emabega n’okulemesa enkyukakyuka.
Omukulembeze w’ekibiina kya FDC oludda olwe Katonga road Erias Lukwago agambye nti oludda lwabe Najanakumbi lwakoma tebalina kyebazaako, era nti nebyebakola tebirina gyebitwala kibiina mu kibiina.
Bano balumiriza ssaabawandiisi wa FDC Nandala Mafaabi, ne president wabwe Patrixk Amuriat Obbo okwekobaana batunde ekibiina kyabwe mu NRM.
Balumiriza nti n’ensimbi ezakozesebwa Patrick Amuriat omuvuganya mu kalulu ka 2021 ku bwa president, nti zaamuwebwa NRM.
Salamu Musumba agambye nti ekibiina betegefu okukinunula nga balumbye ekitebe, wabula nti sibakwasanguza ntegeka zabwe zebasazeewo okutuukiriza entegeka eno.
Wabula oludda lwe Najanankumbi lwalabudde abakulu bano nti byonna byebakola bamala budde tebakyaalina buyinza mu kibiina.#