Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekitakabanira obutondebwensi ki World wide Fund for Nature kulaze nti abakyala n’abaana bandyongera okukosebwa n’ebitundu 14% olw’okutyoboolebwa kw’Obutondebwensi munsi yonna singa tewaba kikolebwa kubutaakiriza.
Okunoonyereza kulaze nti okufumbisa enku n’amanda kukosezza nnyo ‘Obutondebwensi, nga ekyetaagisa ye government okwenyigira obutereevu mu kaweefube w’Okutaasa ebibira nga esimba ebipya, okutaasa entobazzi ezisengejja amazzi n’ikulwanyisa okusuula ebicupa bya plastic mu nnyanja n’Emigga.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kwetegekera olutuula lw’ensi yonna olukwata ku Butondebwensi olugenda okubeera e Dubai mu December,2023, Ivan Tumuhimbise nga yaakulira ekitongole ki World Wide Fund for Nature Uganda asabye government eyongere amaanyi mu kuwagirwa Abavubuka okwenyigira mu kusimba emiti, okutaasa entobazzi, n’okunyweza amateeka agakangavvula abatyoboola Obutondebwensi.
Tumuhimbise agambye nti ssinga emiti gyongerwa okusimbibwa, empewo ey’Obulamu yakweyongera mu ggwanga, n’emikka egyoobutwa egiva ku makolero agenjawulo gyakukendeera mu bwengula.
Obwakabaka bwa Buganda emyaka esatu egiyise bwatta omukago ne World Wide Fund for Nature okutumbula Obutondebwensi, era nabwo mu lukungaana luno bugenda kukiikirirwa minister avunaanyizibwa ku Bulungibwansi n’Ekikula ky’Abantu Owek Mariam Mayanja Nkalubo.
Bisakiddwa: Kato Denis