Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namuganga mu Gombolola ye Nalutuntu mu district ye Kassanda abaana b’essomero 2 bagudde mu luzzi nebafiiramu.
Abaana bano babadde bayizi ku somero lya Salvation Primary school.
Kigambibwa nti omufumbi w’essomero yabatumye amazzi ku luzzi tebaakomyewo.
Bwewayiseewo akadde nga tebakomawo kwekugezaako okubawondera baasanze bagudde mu luzzi.
Abatuuze bataamye nebalumba essomero, wabula omufumbi abadde atumye abayizi ku luzzi awamu n’abakulira essomero olubalabye nebasaako kakokola tondeka nnyuma.
Abatuuze bekozeemu omulimu nebannyululayo emirambo mu luzzi.
Police oluvannyuma nayo etuuse mu kitundu nekkakkanya abatuuze ababadde bavudde mu mbeera nga bagala kukola bulabe ku somero lino.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif