Ministry y’ekikula kyábbantu erabudde abantu n’e bitongole ebikozesa abaana abato emirimu egitaja mu myaka gyabwe , nti boolekedde okukwatibwa bavunaanibwe.
Ministry egamba nti abaana bangi abakozesebwa emirimu egivaamu ensimbi nga tebanetuuka, nebafunirayo obuvune ku mibiri n’obwongo.
Okusinziira ku alipoota yékitongole ky’obwanakyewa ki United Children Fund, omuwendo gwábaana abakola emirimu egyéngeri eyo gwayongera okulinnya okuva omuggalo gwa covid 19 bwegwajja, okuva ku bitundu 21% okutuuka ku 36%.
Abaana bangi ku bano tebadda mu masomero okuva lwegagulwawo mu January wómwaka guno 2022.
Minister avunanyizibwa ku baliko obulemu Hellen Asamo abadde ku media center mu Kampala, agambye okunoonyereza kwebaakola mu mwaka 2020 kwalaga nti abaana ebitundu 36% abali wakati we myaka 15-17 bakozesebwa emirimu egitasaana.
Wano ministry wesinzidde neyewera okufaafagana nabakozesa abaana abato emirimu egitaja mu myaka gyabwe.
Minister Hellen Asamo anokoddeyo abateeka abaana ku nguudo okusabiriza naddala nga bajjibwa mu bitundu bye Kalamoja, nti bano bateekeddwako omukono ogwékyuma bakubayigga buli wamu.
Mu nteekateeka yókusomesa abantu okwewala ebikolwa byókukozesa abaana emirimu egivaamu ensimbi nga tebaneetuuka, buli nga 12 June, lwassibwawo mu nsi yonna okwefumiitiriza ku mbeera yábaana abo.
Wano mu Uganda olunaku olwo lugenda kukuzibwa mu district ye Kabalore ku somero Lya Bunyonyi primary ku Sunday eno.
District ye Kabalore yesinga okubeeramu omuwendo gw’a abaana abakozesebwa emirimu egyámaanyi ngga bano bakola ku masamba ga majaani.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius