Abaana 6 bafiiridde mu nabbambula w’omuliro akutte ennyumba mwe babadde basula mu zooni eya Namulanda B mu Town Council ye Kajansi ku luguudo lwe Ntebe mu district ye Wakiso
Omuliro gukutte bebase ku ssaawa nga musanvu n’ekitundu, mu kiro ekikesezza leero nga 15 May,20204.
Abatuuze bagezezaako okutaasa wabula basobodde kuggyayo ba maama babwe 2, era nabo bali mbeera mbi.
Ekivuddeko omuliro tekinategeerekeka.
Ennyumba ezikutte omuliro za muzeeyi Rapheal Mayanja Sseddugge era nga zibadde zisulamu bapangisa.
Police emirambo 6 egiggyeyo, nga bwegenda mu maaso okunoonyereza oba nga mulimu abalala abafiiridde mu muliro guno.
Bisakiddwa: Kakooza GeorgeWilliam