Abaana bana bafiiridde munju ekutte omuliro, ku kyalo Kawuku Kira municipality mu district ye Wakiso.
Enjega eno ebadde mu maka g’Omukyala Naigaga Annet omwoki wa kasooli ne gonja mu kitundu.
Abagenzi kulikop Namulindwa Even aweza emyaka 8, Kibuuka Isan 6, muzzukuluwe Nansubuga Noreen owemyaaka emyaaka 3, n’Omulala ategeerekeseeko erya Cynthia.
Kigambibwa nti Naigaga abaana bano yabalese mu nnyumba enkya ya leero, nagenda okukima amazzi, kyokka agenze okudda asanze omukka omungi guva mu nju , nagezaako okuyingira ataakirize nga bwakuba enduulu nebigaana.
Kiteeberezebwa nti waliwo Omwana omukulu abadde asula mu Nyumba yeemu, eyalese ettaala nga eyaka , nga yegambibwa okuvaako omuliro guno.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti emibiri gyabagenzi ena gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa, nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.