Enkuba ebaddemu kibuyaga ow’amaanyi esiguukuludde omuti ogukubye enju nemufiiramu abaana 2, n’abalala abakutuse amagulu, bapoocera mu ddwaliro lye Kiwoko.
Enjega eno egudde ku kyalo Butuuti ekisangibwa muluka gwe Kapeke mu gombolola ye Kikamulo mu district ye Nakaseke.
Ssentebe w’ekyalo kino Ronald Ssebuyungo agambye nti abaana babadde bagenze kuwummulira Nakaseke, nga baavudde Luweero, wabula enju mwebaabadde ebagwiridde nebafiiramu.
Police emirambo egyiggyeyo okwongera okwekebejjebwa.
Bisakiddwa: Ttaaka Conslata