Abaana 2 okuli ow’emyezi 5 n’owemyaka 3 basirikkidde mu nnabbambula w’omuliro akutte ennyumba mu kiro n’esaanawo, ku kyalo Buswale mu diatrict ye Namayingo.
Omwogezi wa police mu Busoga East Nandawula Diana agambye nti byebaakafuna biraga nti bazadde b’abaana babadde babalese mu nju nga bbo bali mu ffumbiro bafumba mmere, bagenze okulaba ng’ennimi z’omuliro zifubutuka mu nju.
Bagezezaako okuguzikiza nga gweyongera kusaasaana.
Bateebereza nti omwana ow’emyaka 3 yandiba nga yabadde azannyisa akataala kwekukwata nju, nebafiiramu n’omuto ow’emyazi 5, n’ebintu byomunju byonna nebisirikka.#