Abaana 6 bakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya Kasaana Junior School mu Nyendo mu kibuga Masaka.
Abayizi 2 bagiddwayo mu muliro nga bafudde okuli Ahebwa Alosius ne Malik Katende, so ng’abalala 4 bafiiridde mu ddwaliro e Masaka ne Kiruddu gyebabadde batwaliddwa ng’embeera mbi.
Ekisulo ekiyidde kibaddemu abaana ba Top class ne P.1 abali wakati w’emyaka 5 – 8 egy’obukulu.
Omuliro guno guteeberezebwa okuba nga gukutte ku ssaawa nga kkumi ez’ekiro.
Omugatte awamu abaana 11 bebookeddwa omuliro.
Metron w’abayizi bano Adong Christine naye yoomu ku bakoseddwa.
Akolanga omwogezi wa police e Masaka Jamada Wandera agambye nti okunoonyereza kwebaakafunawo kulaga nti omuliro gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.#