Police ye Mukono etandise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekiviiriddeko omuliro ogukutte enju nemufiiramu abaana 2 mu kiro.
Bino bibaddewo mu ssaawa nga 4 ez’ekiro mu Zone eya Kikooza ekisangibwa mu division ey’amassekati g’ekibuga Mukono.
Abaana abafudde bawala kuliko Biyankwa Isiah ow’emyezi 4 ne mukuluwe Mulimira Aliya ow’emyaka 07, bombi baana ba Nalongo Margret gwebabadde babeera naye mu nnyumba.
Ssentebe wa Zone eno eya Kikooza Tonny Kimbowa Ssonko agambye nti omuliro gwakutte nga nnyina w’abaana bano Nalongo Margret agenze ku mulimu ogw’okusiika Chips mu kitundu kyekimu ekya Kikooza, era bateebereza gwavudde ku musubbaawa ogwalekeddwa nga gwaka munju.
Ssentebe Kimbowa ategeezezza nti omuliro guno gwakosezza n’abatuuze abalala ababadde basula okuliraana ennyumba eno maama w’abaana 2 abafudde kwabadde apangisa.
Wabula Ssentebe Kimbowa yekkokodde abatuuze abazimba amayumba obubi nebaziba n’amakubo emmotoka ezizikizza omuliro gezandibadde zikozesa okutuuka amangu okuzikizza omuliro.
Bisakiddwa: Kawere Wilber