Abatuuze mu bitundu by’e Nakirebe mu district ye Mpigi bali mu kutya oluvanyuma lw’ab’eby’okwerinda okusalako omuzikiti gwabwe nebakwata abaana bebasanze nga basomeramu eddiini y’ekiyisiramu wamu n’ababadde babasomesa.
Abatuuze batagezeza nti ab’eby’okwerinda ababadde bakutte emundu nga bambadde engoye eza bulijjo, nga batambulira mu mottoka ez’ekika kya drone basazeeko omusizikiti gwa Masjid Musa ogusangibwa e Nakirebe emabega w’amafuta ga Gas Line agali ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Kigambibwa nti baatutte abantu abasoba mu 16 okwabadde abaana abasoba mu 10 ababadde bayigirizibwa okusoma ekitabo ekitukuvu ekya Koran ate n’abamu ku basomesa babwe bebasanze mu muzikiti guno
Adam Kalungi ssentebe w’olukiiko oluzimba omuzikiti guno ogwa Masjid Musa, agambye nti ab’eby’okwerinda baategezezza nti abaana bebaakutte babadde batendekebwa bya Kitujju era nti balina akakwate ku batujju abali mu kabinja ka ADF.
Ismail Imata omu ku batuuze ategezeza nti abamu ku baana ab’eby’okwerinda bebaakutte kuliko abo ku kyalo ate n’abaavudde mu bitundu eby’enjawulo abajja okusoma eddiini.
Wabula Fred Enanga omwogezi wa police mu ggwanga ategezezza nti agenda kusooka yebuuze oba ebikwekweto byabadde bya policr oba byakoleddwa aba CMI
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico