Abaali abatuuze ku ttaka lya Nakawa Naguru Estate bagala government ebaliyirire obukadde bwa sh 50 buli omu, oba ebaweemu yiika 30 ez’ettaka eddala balyekulakunyize.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abaali abatuuze ku ttaka ekya Naggulu-Nakawa Registerd Tenants Association Simon Barigo, abadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akatekebwawo okunonyereza ku nsonga ze ttaka lino, nayanjula ebyetaago byabwe.
Barigo ategezeezza ababaka nti mu mwaka gwa 2018 olukiiko lwaba minister lwayisa ekiteeso nti buli eyali omutuuze ku ttaka lino aweebwe obukadde bwa shilling 17, kyokka n,okutuusa kati kino tekikolebwanga kyakoma mu bigambo.
Barigo agamba nti abatuuze abasengulwa mu kifo kino baali bawera 1,747.
Kati bagala government ebaweemu obukadde 50 mu nnyumba zabwe ezasendebwa.
Ekya sente bwekiba tekisobose wakiri governmenr ebaweemu ettaka lya yiika 30 nga liri kumpi ne Kampala bezimbire amayumba amalala.
Mu mwaka gwa 2007 government yakola endagaano ne kapuni eyo bwanannyini eya Opec prime properties, okukulakulanya ekifo kino.
Kampuni eno yalina okuzimbaki amayumba, n’okukifuula ekibuga eky’omulembe ‘satellite city’ kyokka nokutuuka kati kino tekikolebwanga.
Barigo agamba nti abantu abasengulwawo bali mu mbeera mbi, kati emyaka gisoba mu 15 government tenaba kubazimbira.
Omubaka akiikirira abantu ba Nakawa west Joel Ssenyonyi asabye parliament ewagire ekiteeso kya bantu bano bawebwe obukadde 50, mu kifo kye 17 nti kubanga wayiseewo ebbanga ddene.