Bannauganda abaali abakozi b’omukago gwa East Africa community ogwasookawo negusaanawo mu mwaka gwa 1977,nokutuusa kati tebasasulwanga.
Abakozi bano babanja akasiimo kabwe wamu n’emisaala gyebaali bakolera omukago bwegwali tegunasaanawo.
Abakozi 48 abaali abakozi mu mukago ogwo, beekubidde omulanga eri parliament nga bayita mu mubaka Opio Samuel Acuti, nga bagamba nti emyaka 44 egiyise okuva omukago lwegwasaanawo babanjizza ensimbi zabwe naye tebaddibwamu.
Omubaka Simon Opio Acuti abuulidde parliament nti abakozi bano 48 bakiikirira bannabwe abasoba mu lukumi.
Ensonga zino bwezaatwalibwa mu kkooti mu mwaka gwa 2000 government yakaanya okubasasula, wabula nakati tebasasulwanga.
Asabye parliament ewalirize minister w’ensonga za East Africa agende anyonyole ekikyalemesezza abantu bano okusasulwa akasiimo kabwe
Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka abuulidde parliament nti wofiisi ye ebyayo yabimaliriza, ebisigadde bya ministry y’ensonga za East Africa.
Omukago ogwaasooka gwatandikibwawo mu mwaka gwa 1967 negusanaawo oluvannyuma lw’emyaka 10 mu 1977.
Mu mwaka gwa 2000 gwazzibwa bujja, ng’ekitebe ekikulu kiri mu kibuga kya Arusha mu Tanzania.