Abantu ba Ssaabasajja abadduse emisinde gy’amazaalibwa ge mu gombolola ya Ssaabawaali Butayunja mu ssaza Busujju, bakyekokkola enguudo embi eziri mu kitundu ezaabadde zibalemesezza okumalako emisinde.
Essaza Busujju lisangibwa mu district ye Mityana.
Oluguudo luno luli mu mbeera embi era mmotoka ezisinga tezisobola kuluyitamu naddala enkuba etonnya.
Bisakiddwa : James Kaana Ssebuguzi